Skip to content Skip to footer

Abavubuka ba NRM batandise okwogereza bannaabwe

Ab’ekiwayi ky’abavubuka mu kibiina kya NRM babakanye ne kawefube w’okusakira omuntu waabwe eyesimbyewo ku bwapulezidenti obuwagizi nga bayita mu kwegatta.

Bano batandikidde ku banaabwe abafuna obutakkanaya mu kibiina nebabakowola okudda eka okukomya enjawukana mu kibiina.

Akulembeddemu abavubuka bano  Gaddafi Nasur  agamba baataddewo dda akakiiko akagenda okutabaganya abo bonna abamegeddwa mu kamyufu.

 

Kino kiddiridde abamu ku bavubuka abaakubidwa mu kamyufu okuwera okwegatta ku Mbabazi nga balumiriza nti akamyufu kaabaddemu okubbira okutagambika.

Leave a comment

0.0/5