Waliwo ekibinja ky’abavubuka okuva mu bibiina ebyenjawulo abakwanze kkooti etaputa ssemateeka ekiwandiiko nga bawakanya eky’okwongeza ensimbi z’okusunsulibwa okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo wano mu ggwanga.
Nga bayita mu kibiina kyabwe ekibataba, abavubuka bano bawakanya ekyokwongeza ensimbi z’okwesimbawo ku bukiise bwa palamenti okuva ku mitwalo 30 okutuuka ku bukadde 3 zebagamba nti nyingi.
Nga bayita mu bannamateeka baabwe aba Semwanga, Muwazi and company advocates,abavubuka bano baagala kkooti ebisazemu baddeyo ku nsimbi enkadde.
Bano babadde bakulembeddwamu Paul Sembajwe ow’ekibiina kya Democratic Party Youths petition.