Abavubuka b’ekibiina ekyeyita ekyabaavu ekya poor youth’s brigade mu lufuutifuuri balangiridde enteekateeka zaabwe ez’okutambula omwezi mulamba batuuke mu ggwanga lya Kenya.
Olugendo lwabwe balutuumye olugendo lw’okufuna emirembe baakulutegeka mu kiseera kyekimu omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barak Obama lwagenda okukyalako mu ggwanga lino mu mwezi ogwomusanvu omwaka guno.
Mu kwogerako nebannamawulire amakya galeero, abavubuka bano abakulembeddwamu Richard Kirekyankuba bagamba nti baagala kukwanga pulezidenti Obama ekiwandiiko nga beemulugunya ku mbeera eri mu Uganda.
Kirekyankuba agamba baawandikidde dda ab’ekitebe ky’eggwanga lya Kenya kuno ku nsonga yaabwe eno naye tebanafuna kuddibwamu.
