MASAKA
Bya Gertrude Mutyaba
Ababaka ba Palamenti ku ludda oluvuganya gavumenti basabye abantu babulijjo, okulwana ennyo okukakasa nti ssemateeka we gwanga takwatibwamu.
Ababaka bano nga bakulembeddwamu akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Winnie Kizza basinzidde Masaka mu lukungaana lwabwe olwasoose nga bebuuza ku bantu ku nnongosereza mu ssemateeka we gwanga.
Kiiza asabye abatuuze b’e Masaka okusabira ennyo abavuddeyo okulwanirira consititution ya Uganda nga balwanyisa ababbi.
Omubaka wa Mukono Municipality Betty Nambooze Bakireke asabye banna Masaka okuwalabanya abo bonna abanaavaayo naddala mu mikolo nga bawagira enongoosereza ku myaka n’ettaka nga eno y’engeri yokka ejja okugoba ababbi mu ggwanga.
Olukungaana luno lwabadde mu paaka ya loole, akawungeezi akayise.
Mu kusooka wabaddewo okusika omuguwa ne poliisi, ngegmba nti ekifo kino kikyamu kubanga kyanditataganya emirimu mu kibuga, nebyensoma kubanga ebiffo ebimu byebasabye birimu amasomero.
Bano oluvanyuma lwolukungaana lwabwe olwaloose e Masaka bakudda e Kampala ne’ Mityana.
