Bya Samuel Ssebuliba.
Government ey’ekisikirize mu palamenti ye gwanga ewakanyiza ekya government kyegamba nti eby’enfuna bye gwanga byakukula n’ebitundu nga musanvu oba munaana ku buli kikumi mu mwaka 2019-202, kyoka nga obwabu buli kubannayuganda bubatta
Bwabadde eyanukula ku ngabanya y’ensimbi etali ya nkomeredde kiyite Budget frame work paper ey’omwaka ogujja, minister mu government eno akola ku by’amateeka Wilfred Niwagaba agambye nti wakyaliwo omuwaatwa munene mu government byeyogera n’ebirabika mu gwanga, kubanga kaakano emirimo gibuze, ebintu birinye ebeeyi, kale nga okulimba abantu nti ebyenfuna biteredde kikyamu.