Skip to content Skip to footer

Abavunanwa mugwa Magara basindikiddwa mu kooti enkulu

Bya Ruth Anderah

Abantu 9 abavunanibwa okutta omukyala Susan Magara basindikiddwa mu kooti enkulu, atenga Patrick Kasaija amanyiddwa nga Pato era ku misango gyejimu akyayigibwa tanakwatibwa.

Abantu bano 9 omulamuzi we ddaal erisooka mu kooti ya Buganda Road Robert Mukanza yabongeddyo ku biragiro bya Ssabawaaabi wa gavumenti Mike Chibita.

Kino kyadiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Patricia Cingtho okutegeeza gyebuvuddeko nti okunonyererza ku misango gyabantu bano kwawedde.

Omulamuzi Mukanza alamudde ku kusaba kwa munamateeka Evans Ochieng eyabadde wakanya okusindik abantu bano mu kooti enkulu, nga kuliko nomuntu gwebatakwatangako.

Kasaija kigambibwa nti ali mu gwanga lya South Africa wabula, omulamuzi amuyisizaako ekiwbaluwa ekimuyita mu kooti okubaawo nga January 7th 2019.

Oludda oluwaabi lugamba nti abavunanwa nabalala abakyaygibwa nga February 7th 2018 bawamba Susan Magara noluvanyuma nebamutta mu bitundu bye Kigo mu Wakiso.

 

Leave a comment

0.0/5