Skip to content Skip to footer

Abawala babbye 300/- mukama waabwe n’abagalira

Bya Magembe Sabiiti

Poliisi mu gombolola ye Bukuya eriko abawala 15 benunudde okuva mu nyumba mwebabadde bagaliddwa okumala enaku 3.

Okusinzira ku ssentebe we gombolola ye Bukuya, Haj Tanula Sulaiman abawala baava bitundu bye ggwanga ebyenjawulo omuli Bundibugyo, Kasese, Jinja nawalala nga baali babaleeta kukola mu kirabo ky’omwenge ekimanyiddwa nga Bukuya-Public Pub.

Poliisi ngeri nabakulembeze basobodde okumenya oluggi lw’ekisenge ekimu ku bbala eno abawala mwebabadde bagaliddwa, nebabajjayo.

Nanyini bbala eno Benjamini Ekobie okubaggalira kigambibwa yabadde abalanga okubba ssente ze nusu 300.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala kitundu Nobert Ochom avumiridde ebikolwa bino nategeeza, nti batandise okunonyereza.

Leave a comment

0.0/5