Mityana:
Akulira ebyokulonda mu distulikiti ye Mityana Steven Makubuya amakya ga leero alangiridde Patrick Mugisha Nshimye owa NUP nga ssentebbe wa distulikiti ye Mityana.
Ono awangulidde ku bululu emitwalo 4 mu 3,703 ngowa NRM abadde ssentebbe wa distulikiti eyo Joseph Luzige yafunye obululu emitwalo 2 mu 1,216.
Abdul Muyimbwa yakutte kifo kyakusattu nobululu 3,382.
Distrulikiti ye Mityana erina amagombolola 17 okuli ne tawuni kanso 2 wabulanga aba NUP bawangudde ebifo 10 ku bifo 22 ebyabakiise.
Mubende:
Akulira ebyokulonda mu district y’e Mubende Kunihira Christine Phiona alangiridde owa NRM Muheereza Micheal Ntambi kubwa ssentebe wa district y’e Mubende.
Muheereza Micheal Ntambi awangulidde ku bululu emitwalo 3 mu 9,275 ate munne bwe babadde mu lwokaano ow’ekibiina kya NUP Kyeyune Epafra Ddito nafuna obululu emitwalo 2 mu 6,364.
Wabula Kyeyune alabika nga atannaba kukkiririza bivudde mu kulonda ngawakanya obululu obuvudde ku Polling Stations okuli ey’e Lugaaga ne Kyakasa mu ggombolola y’e Kigando.
Mu distulikiti endala,
Mpigi:
Ssejjemba Martine Ssendege (NUP) 29,177
Mutuluza Peter Claver Barnabas (NRM) 8,174
Male Fred (DP) 4,176
Ssematimba Godfrey Kasasa (Indep) 3,850
Kawooya Vicky Frank (Indep) 1,500
Gomba:
Godfrey Kiviiri Tumwehe (NRM) 16,796
Eriphaz Mubiru (NUP) 16,745
Kati NRM ewangulidde ku njawulo ya bululu 51, wabula
Mubiru agaanye okukiriza ebivudde mu kulonda
Butambala:
Rashidah Namboowa (NUP) 16,754
Mariam Nalubega – Former Woman MP (Independent) 1,626
Hajji Muhammad Lwoga Nsiyaleeta (NRM) 5,856
Ibrahim Mutyaba Star (FDC) 588
Edward Ssebuyiira (Independent) 283
Isaac Wamala (ANT) 151
Kaliro:
Mu distulikiti ye Kaliro abadde ssentebbe wa district Wyclif Ibanda awanguddwa owa NRM Elija Kagoda Dhikusoka.
Kagoda awangulidde ku bululu emitwalo 3 mu 728 atenga Iband yafunye obululu emitwalo 2 mu 7,228.
Bugiri:
Davidson Mulumba Kasajja yawangudde, ngamezze Malijani Azalwa.