Bya Ruth Anderah.
Omusajja ow’emyaka 23 awonye e kkomera oluvanyuma lw’okumwejereza omusango gw’okusangibwa ng’asalimbira mu muddo gwa KCCA
Musika Abdul asomeddwa omusango guno mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Beatrice Kainza nagukiriza.
Musika yetondedde kkooti era n’asaba omulamuzi amusonyiwe.
Guno omusango yaguza nga October 3rd 2017 ku Kabakanjagala wano e Mengo .