Skip to content Skip to footer

Abawolereza Ongwen beeyongedde

Ongwen

Bannamateeka abasoba mu 30 beebakasaba gavumenti okuwolereza eyali omuduumizi wa LRA Dominic Ongwen mu kkooti y’ensi yonna.

Minisita omubeezi akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Henry Oryem ategeezezza bannamawulire nti bannamateeka ba bawandiikidde ssabwolereza wa gavumenti

Oryemu agamba nti Ongwen wakukkirizibwa okubeera nebannamateeka okusobola okwewozaako.

Ono mukakafu nti bakukolagana bulungi ne kkkooti y’ensi yonna okusindika abajulizi mu kkooti eno mu kuwozesa Ogwen.

Leave a comment

0.0/5