Bya Damalie Mukhaye ne Ivan Ssenabulya
Abayizi okuva mu gwanga lya Rwanda abalai mu 187 tebetabye ku mikolo gyabwe egyamattikira ku ttendekero lya Kampala University agakyagenda amu maaso.
Kino kidiridde empalana eyabaluseewo wakati wa Uganda ne Rwanda, nensalo neggalwa.
Bwabadde ayogerera ku mattikira gano agomyulundi ogwe 16th e Ggaba, omumyuka wa ssenkulu ku Prof Bandiru Katerega wabula agambey nti bano, emikolo bagigobereredde ku TV.
Zzo empapula zaabwe zaakubaweebwa oluvanyuma.
Abayizi 3,352 bebatikiddwa ngabayizi 1820 bannna-Uganda, ate abalala 1,532 bava mu mawanga nga Rwanda, Kenya, Tanzania ne South Sudan.
Ate abakyala abali mu byobusubuzi basabye omukago gwa EAC ku mutendera gwabakulembeze, okuteea bagonjoole obutakanya wakati wamawanga gombi.
Ssentebbe wa boarda mu kibiina kya Uganda Women Entrepnuers Association Ltd, Angela Bageine agambye nti endoliito zino zibakosezza nabo.
Agambye nti waliwo egyamaguzi ebiwerako abakyala byebagula, okuva mu gwanga lino nokubitwala mu gwanga lya Rwanda.
Bageine abadde ayogera ne banamwulire ku wofiisi zaabwe e Lugogo, ngeno alangiridde enkata ya buwumbi 20, ezigenda okuwagira abakyala mu business, okubagatta ku butale.