Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ekutte omusajja ateeberezebwa okubeera mu kibinja ky’ababbi abanyaga abasaabaze mu takisi ne bodaboda.
Issa Kizza akwatiddwa abaserikale ababadde balawuna ku Ben Kiwanuka nebamutwala ku poliisi ya Min Price mu Kampala.
Akulira poliisi eno Fabiano Baryayamba agambye nti Kizza olwalabye abaserikale abaabadde balawuna n’afubuka wabula nebamutayiza, era nebamukwata.
Baryayamba agamba nti baludde bafuna okwemulugunya nga bwewaliwo abavubuka abateega abantu mu kalippagano k’ebidduka nebabanyagako amassimu n’ebintu ebiralala eby’omugaso.
Kizza aggaliddwa oluvannyuma lw’okuggulako omusango gwobubbi.