Abasajja 7 ebasibibwa amayisa wamu n’emyaka 50 ku musango gw’okutega bbomu mu kampala mu mwaka gwa 2010 baddukidde mu kkooti ejulirwamu nga bawakanya ebibonerezo byabwe bino.
Bano kuliko Isa Luyima, Haruna, Luyiima, Suleiman Nyamandondo , Hassan Agade, Idris Magondu, Habib Njoroge ne Muhammed Ali era bayise mu kitongole ky’ebyamakomera okujulira.
Mu kiwandiiko kyabwe ekyokujulira, bategezezza kkooti ejulirwamu nti tebamatira nsala ya mulamuzi wa kkooti enkulu kubanga n’ebiboberezo byasukka.