
Omusango gwa DR Kiiza Besigye ogw’okujeema mu nkola ya defiancy campaign mu kkooti etaputa ssemateeka gugudde butaka.
Omusango guno gubadde gwakuwulirwa abalamuzi 5 amakya galeero.
Wabula olutuuse mu kkooti, bannamateeka ba ssabawolereza wa gavumenti nga bakulembeddwamu amyuka ssabawolereza Mwesigwa Rukuntana wamu ne munnamateeka w’ekibiina kya FDC Ladislous Rwakafuuzi bategezeddwa nga omusango bwegubadde tegusobola kuwulirwa oluvanyuma lw’abalamuzi 2 okubulawo.
Omulamuzi Cheborion Barishaki y’afiiriddwa ow’olugandalwe sso nga ye Catherine Bamugemereire ali bweru wa ggwanga mu lukungaana .
Kati omuwandiisi wa kkooti eno Deo Nzeyimana omusango guno agwongeddeyo okutuusa nga 23 June ku ssaawa 4 ezokumakya era n’alagira ssabawolereza wa gavumenti awe Besigye ebbaluwa endala ddi lwalina okulabikako mu kkomera e Luzira gyali.