Skip to content Skip to footer

Abayizi bateekedde enyumba omuliro

fire guts house

Abayizi b’essomero lya  Maliba Secondary School e Kasese batekedde ennyumba z’abatuuze 2 omuliro nga babalumiriza obulogo.

Ssentebe wa disitulikiti eno  Robson Magoma agamba abayizi bano baasibidde nanyini nyumba emu mu nyumba n’oluvanyuma nebajiteekera omuliro wabula baliraanwa nebakuba enduulu eyatemezza ku poliisi etaasizza omukyaala ono.

Awonye amagombe  ategerekese nga  Gladys Biira ow’emyaka  62..

Abayizi olulabye poliisi nebajikanyugira amayinja nga etaasa omukyaala ono.

Poliisi ekyanonyereza ku nsonga eno.

Leave a comment

0.0/5