Skip to content Skip to footer

Abayizi mubawe eky’emisana ku masomero

Bya Damali Mukhaye,Minisitule y’e byenjigiriza esabidwa okubaako ky’ekola okulaba nti abayizi bafuna eky’emisana ku masomero.

Nga ayogerako naffe omulamuzi okuva e mukono Margret Mutonyi agamba nti eky’obutawa baana mmere ku masomero kuba kubagyako ddembe lyabwe.

Ono agamba nti abaana ab’obuwala bakemebwa nyo ne batandika ebikolwa eby’okwegadanga okusobola okufuna ekikumi bafune kye banalya ku masomero.

Mungeri yemu agamba nti emisango egisinga gye bafuna mu kkooti egy’ekuusa ku kukabasanya abayizi gibatusibwako nga bagenze ku bisiko okufuna emiyembe okuwona enjala ebeera ebaluma.

Mutonyi asabye gavumenti efube okulaba nti abayizi bafuna ekyemisana ku masomero okwewala embeera eyinza nokubalemesa okusoma.

Leave a comment

0.0/5