
Poliisi esambazze ebigambibwa nti abaziyiza emisango abamanyiddwa ng aba crime preventers yabawadde emmundu mu kwetegekera akalulu akabulako ennaku.
Kino kiddiridde ebibiina by’obwanakyewa okuvaayo nebitegeeza nga bano kati bwebakaalakaala nemigemera wala.
Kati omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba tewalai aziyiza misango ayinza kuweebwa mmundu kubanga tebatendekebwa kukwata byakulwanyisa.
Agamba baakola dda enteekateeka eyabajaasi abatendeke obulungi emitwalo 15 nga era esssaawa yonna bakusindikibwa mu bifo ebitali bimu.
Wabula ye minisita w’ebyamateeka n’ensonga za ssemateeka Kahinda Otafire olunaku olweggulo y’ategezezza nga bw’atalaba kikyamu mu kuwa bano mmundu.