Bya Ruth Anderah
Omusajja ow’emyaka 43 akwatiddwa nasimbibwa mu mbuga z’amateeka lwakubba Mbuzi biri.
Kugonza Kamara Henry g’akola mubimuli bya Makerere University asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende nakiriza omusango neyetonda era nasaba ekisonyiwo.
Kugonza ategezezza kkooti nti embuzi biri yazibba naye emu yamubulako nga ey’okubiri yo weeri era nga ekumibwa ku police ya Jinja Road.
Omulamuzi Nabende awuliriza okusaba kwe namusonyiwa naye namulagira asasule nanyini mbuzi emitwalo 450,000shillings olw’embuzi emu eyabula ete eri eriwo emudizibwe.
Kugonza nga mutuuze we Kasubi Rubaga division embuzi zino yazibba okuva mu lufula ya Port Bell Road era nga zaali za Seruyinda Jamiru nga zombi awamu zibalirirwamu emitwalo 80.