Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze be Kazo, batwalidde amateeka mu ngalo, nga baliko omusajja gwebasse bwebamutekedde omuliro nasirira.
Bino bibaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero, nga kigambibwa nti babadde 3, nga baterezebwa okubeera ababbi nebabakumako omuliro naye 2 nebadduka.
Kati twogeddeko noomu ku batuuze natugamba nti poliisi egyewo ebisigalira byomusajja ono.
Yye omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Oweyesigyire, ategezezza nga bwabadde tanabimanayako.