Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bategezezza nga bwekitali kyabwenkanya abakakiiko akalungamya ebyempuliziganya aka Uganda Communications Commission ne poliisi okulagira bananyuganda bonna okuddamu okuwandiisa kaadi z’essimu zaabwe.
Akakiiko kano n’abalala bekikwatako olunaku lw’eggulo baawadde bannayuganda bonna ennaku 7 zokka nga bamaze okuwandiisa amassimu gaabwe oba sikkyo gajibweko nga era kuluno abalina endaga Muntu bokka bebagenda okuwandiisibwa.
Akulira akakiiko kano Godfrey Mutabaazi agamba baagala kulwanyisa bumenyi bw’amateeka mu ggwanga.
Wabula ye akulira ekibiina kya Human Righta inniative Dr. Livingstone Ssewanyana agamba bano tebaabaliridde bannayuganda.
olw’eggulo welwazibidde nga amakampuni agamu tegenaweebwa mu butongole kiragiro kino.