Abayizi ku ttendekero ye Makerere abatikiddwa olwaleero basomozeddwa okufuba okulaba nga bateeka ettoffaali ku nkulakulana y’eggwanga.
Obubaka buno bubaweereddwa ssenkulu w’ettendekero lino omujja Dr Ezra Suruma bw’abadde akulembeddemu emikolo gy’amatikira ku kasozi k’abayivu e Makerere.
Dr Suruma agamba bano tebasanye kulinda balala kuletea nkulakulana mu ggwanga wabula nabo begatte ku mugendo gw’okukulakulanya eggwanga lyabwe.
Agambye nti amaggwa mangi gabalinze balina emikisa mingi okugabuuka era bekulakulanye.
Ku mukole gwegumu amyuka ssenkulu w’ettendekero lino prof. John Ddumba Sentamu atenderezza nyo abazadde abelekeleza byonna nebaweerera abaana baabwe.