Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ye Mukono eriko mmotoka gyeyasuuza ababbi, kika kya Loole ISUZU namba KCA 522/D nga kigambibwa nti yali yabbibwa okuva mu gwanga lya Kenya.
Mmotoka eno yakwatiddwa mu kibuga e Mukono ngebadde ennonyezebwa okuva lweyabbibwa omwezi oguwedde.
Samuel Waituru omutuuze we Nakuru mu gwanga lya Kenya, yeyabbibwako emmotoka eno.
Omuddumizi wa poliisi e Mukono Rogers Sseguya awaddeyo mmotoka eno eri Joseph Ngali owa police yensi yonna eya Interpol evudde mu Kenya.