
Abantu 18 banyiga biwundu mu ddwaliro lye Lacor oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje ka baasi mu gombolola Minakulu mu disitulikiti ya Oyam.
Akabenje kano kaagudde ku luguudo oluva e Gulu okudda e Kamdini baasi ya kampuni ya Victory namba UAT 596H ebadde edda e Juba bw’eseredde n’eva ku luguudo neyevulungula.
Aduumira poliisi mu kitundu kino Jimmy Patrick Okema akabenje akatadde ku kuvugisa kimama.