Bya Damalie Mukhaye
Ekitundu kyamambuka namasekati ga Uganda, bebakulembedde mu bungi, abagenda okuwererwa gavumenti ku bbanja, mu matendekero aga waggulu mu lusoma lwa 2021/22.
Mu kwekenneenya ebibalo ebyafulumye okuva mu kitongole kya Higher Education Students Financing Board, amambuka bebakulembedde ku 52.3%.
Amasekati ga Uganda bebaddako ku 29% nekuddako obugwanjuba ku 27% atenga obuvanjuba bali 26%
Omugatte abayizi 1,530 bebagenda okuwererwa ku bbanja, okusinziira ku lukalala olwokubiri, olwafulumiziddwa.
Ssenkulu wekitongole Michael Wanyama agambye nti baatunuliridde ensonga yomwenkano gwebitundu, okuwa bonna omukisa okusoma.