Omusajja agambibwa okutta omusirikale mu kwekalakaasa okwaali mu kibuga emyaka esatu emabega asazeewo butanyega kagambo mu kkooti
Edson Wako ng’ayita mu munnamateeka we Ssali Ssenkeezi agambye nti asazeewo okusirika
Wako avunaanibwa kutta John Michael Ariong ng’ono yakubwa jjinja nga poliisi yezooba n’abantu abaali beekalakaasa mu biseera bya walk to work.
Bino byonna byaali ku miniprice mu mwaka gwa 2012
Kati omulamuzi Elizabeth Alividza wakuwa ensala ye nga 15 omwezi guno
