Bya Abubaker Kirunda
Ab’obuyinza mu gombolola ye Bulongo, mu disitulikiti ye Luuka, baliko omusajja owemyaka 21 gwebakutte nga kigambibwa nti yabadde nomukono mu kufa kwa taata we.
Omukwate mutuuze ku kyalo Kamwirungu mu gombolola eno, nga kigambibw anti yasse oluvanyuma omulambo nagusuula mu ssamba lyebikajjo.
Ssentebbe we’kyalo Jafari Buyinza agambye nti mutuuze munaabwe yasoose kubula okuva wiiki ewedde, naye bwebagezezaako okunoonya omulambo nebagusanga mu bikajjo, ku kyalo Busonga mu tawuni kanso ye Luuka.
Kati omutabani bamuteberezza era nebamukwata nebamuwaayo mu mikono gya poliisi.