Skip to content Skip to footer

Akabenje e South Sudan- Emirambo gidda nkya

Bakulu 2

Aba kkampuni y’abaasi eya Bakulu bakkirizza okuzza emirambo gy’abo abatokomokedde mu kabenje akaagudde mu ggwanga lya South Sudan

Akabenje kano akagudde ku kyaalo Nesiti kaatuze abantu 35 ate nga bangi bakyanyiga biwundu

Addukanya awatuukira abasaabaze mu kkampuni eno, Ali Andama ategeezezza nti bamaze okuwereeza emmotoka egenda okuzza emirambo

Andama asabye ab’enganda z’abagenzi okutandika okukima emirambo gyaabwe okutandika n’olunaku lw’enkya ku makya.

Leave a comment

0.0/5