Skip to content Skip to footer

Akakiiko akalondesa katabukidde bannakyeewa

AKakiiko k’ebyokulonda kaweze okusazamu obumu ku bubaka bw’ebibiina by’obwanakyewa obuli ku mikutu gy’amawulire obukunga bannayuganda ku  kulonda okwamazima n’obwenkanya.

 

Ssentebe w’akakiiko kano  Eng Badiru Kiggundu agamba obubaka obumu nga obw’ekibiina kya CEDU obwa TOPOWA bwebuwuddiisa bannayuganda ku nsonga z’ebyokulonda.

 

Eng Kiggundu agamba obubaka buno bulaga nti ebimu ku bibiina bino byeyingiza buterevu mu by’obufuzi by’eggwanga ekimenya ssemateeka w’eggwanga.

Wabula ab’ekibiina  kya CEDU bewozezzaako ku bubaka buno.

 

Omukwanaganya w’ekibiina kino Crispy Kaheru agamba obubaka bwa TOPOWA tebulina bigendererwa bya kuvumaganya gavumenti.

 

Kaheru agamba baagala kusomesa bannayuganda ku byakulonda n’okubagaziza okwetaba mu kulonda.

Leave a comment

0.0/5