Bya Ndaye Moses
Akakiiko akataba enzikiriza ezenjawulo mu gwanga aka Inter Religious Council of Uganda kasabye palamenti ekyokuteesa ku kujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga kitesebweko kyokka, awatli kukitabirkiriza nekyokwongeza ekisanja okuva ku myaka 5 okudda ku myaka 7.
Ssentebbe wakaiiko kano, Mufti wa Uganda Sheik Shaban Mubajje bwabadde asoma ebbaluwa eyasindikiddwa eri gavumenti agambye nti ekye kkomo ku myaka nsonga nkulu nnyo, kalenga egwanga kutesebwako nobwegendereza.
Ebbaluwa yabanadiini eno, gyebatuumye the Faithful egamba nti okwongeza ekisanja nakyo kigwana kitwalibwe mu bantu okubebuzaako.
Ebbaluwa eno erimu okuwabula kwekisumba ategezeza nti bagenda kujivvunula okujizza mu nnimi enansi 7, okulaga abantu webayimiridde.