Bya Ruth Anderah
Ddaaki omuwabuzi womukulembeze we gwanga ku nsonga zebyobufuzi Yekoyada Nuwagaba ayimbuddwa ku kakalu ka kooti ka bukadde 20.
Yekoyada ayimbudddwa omulamuzi wa kooti ya Buganda Road James Ereemye Mawanda bwaleese abamweyimirira nga batukiridde.
Abamu ku bamweyimiridde kubaddeko Charles Balinda era omuwabuzi womukulembez ewe gwanga, Gashum Ahimbisibwe omukozi mu UNRA ne Muganda we, nga bano balagiddwa okusasula ensimbiobukadde 20 ezitabadde zamu mpeke.
Alagiddwa okutekayo passporta ye era okudda mu kooti nga 9th January wa 2018 poliisi egende mu maaso okunonyererza ku misango gye.
Yekoyada owemyaka 61 akulungudde ennaku 5 mu nkomyo e Luzira oluvanyuma lwokusangibwa namannyo genvubu nenfuddu ennamu katebule ekimenya amateeka .
Oudda oluwaabi okuva mu kitongole ekirabirira ebyomu ttale ekya Wild Life Authority, lugamba nti Yekoyada nabantu abalala 2 mu February womwaka guno basangibwa nebintu bino ebizitowa kiro 192 nga bibalirirwamu ensimbi eziwerako.