Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze we gwanga lya Burundi Pierre Nkurunziza atongozza kawefube owokusaba akulu akekikungo, obukulembeze we bwongerwyo okutuuka mu 2034
Kino kigendereddwamu okubaga ssemateka omugya agenderddwamu okumwongeza ebisanja bibiri ebye emyaka 7.
Wabula abavuganya gavumenti abali mu buwanganguse bagamba nti kuno kunaaba kuziika gwanga magombe.
Bagamba nti era kuno kunaaba kumenya ndagaano eya 2000 eyemirembe, eyabagibwa okukomya olutalo olwomunda olwali lukulungudde emyaka 13, omwafiira emitwalo 30.
Kinajjukirwa nemu mwaka gwa 2015 Burundi yatabanguka Nkurunziza bweyagaana okudda ku bbali songa ebisnja bye byali biweddeko.