Bya Sam Ssebulibwa
Akulira ebyokulonda mu gwanga lya Kenya, Wafula Chebukati akawangamudde nti mu mbeera genda mu maaso mu gwanga nga nobukulembez ebwakakiiko ke bweyawuddemu kyandibeera ekizbu okutegeka okulonda kwa bonna okwamazima nobwenkanya, okusubirwa nga October 26.
Chebukati abadde ayogera ne banamwulire ku kulekulira kwomu kuba komisona.
Bino byebimu ku bibadde mu buka abwe bwasomye okuva mu kiwandiiko ekyemiko 9, era agambye nti bangi bagala alekulire naye tajja kukikola kubanga anabeera asudde egwanga lye mu ntata.
Mungeri yeemu akakiiko kebyokulonda, Independent Electoral and Boundaries Commission kalaze okunyolwa oluvanyuma lwokulekulira kwomu kuba komisona Dr Roselyn Akombe.
Wafula Chebukati agambye nti lino kkonde lynnyini gyebali, mu kaseera kano aka kazigizigi, okutegeka okulonda okwokuddibwamu.
Commissioner Dr. Roselyn Akombe yalekulidde emirimu gye era nayokere amu gwanga lya Bungereza.
Mu kiwandiiko kyeyafulumizza yagambye nti okulonda kwa October 26 ye alabanga okutagenda kubeera kwamzima na bwenkya.