Skip to content Skip to footer

Omukulembeze we gwanga akolimidde abawakanya okujja ekkomo ku myaka

Bya BILL OKETCH

Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni alabudde abawakanya eky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga nti katonda abalaba, era bagenda kubonabona emisana n’ekiro.

Bwabadde ayogerako n’abantu e Lango, president agambye nti  okujja ekomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga kyaletebwa mu bulungi, era nga kyakugasa egwanga, kalenga yenna akiwakanya, abanga awakanya entekakateeka za katonda.

Ku nsonga y’okukyusa mu tteeka  lye ttaka, president agambye nti kino abatuuze bagwana bakiwagire kubanga kigenda kuyamba okuleeta enkulakulana.

Leave a comment

0.0/5