
Abayizi 2 bebakwatiddwa mu kwekalakaasa kw’abayizi b’e Makarere abemulugunya okubula ku nkalala z’abo abagenda okutikirwa.
Abayizi abanyikavu okusinga babadde bakola ssomo lya social sciences bagamba amanya gaabwe tegalabikako nga okutikira kusembedde sso nga buli kyetagisa baakimaliriza.
Akulembera abayizi ku ttendekero lino David Bala agamba yadde nga okwekalakaasa kuno tekunatabuka nyo, abatwala ettendekero lino bebalina okuneneyezebwa olw’okulwawo okumaliriza enteekateeza z’okutukira.
Ono asabye abatwala ettendekero lino okwanguya okutereza enkalala zino nga embeera tenayongera kubijja.