Bya Ruth Andera
Waliwo omusajja ow’emyaka 23 awereddwa ekibonerezo kya saawa 30 nga akola bulungi bwansi nga omusango ogumuvunibwa gwakwefula kyeneena
Steven Ssendegeya nga avuga bodaboda ya gaali kigambibwa nti yakwatibwa wano ku luguudo lwa Sir Apollo Kaggwa nga ennaku zomwezi 10th/May 2017 oluvanyuma lwokumusanga nga akunkumula mu kacupa ka mineral water, kyokka n’amala nakasula mu mwala
Kati ono leero alabiiseeko mu maaso g’omulamuzi wedala erisooka wano ku city hall Moses Nabende nakiriza omusango ogumusomeddwa
Kati ono omulamuzi amulabudde obutaddamu kweyisa nga mungeri etagwana, kyokka n’amusasira kubanga akawago kalabika kaali kagenda kwabika