Bya Damalie Mukhaye
Palamenti egenda egenda kutuula olwaleero okukakasa okulondebwa kw’omumyuka w’omukulembeze we’gwanga ne Ssabaminista we’gwanga.
Kino kigenda kuberawo ng’embalirira ye’gwanga tenasomebwa eggulo lino.
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni yalonze Jesca Alupo ku kifo kya Vice President ne Robinah Nambanja ku kifo kya Ssabaminita we’gwanga, era bano bagenda kweyanjula eri palamenti e Kololo.
Okusinziira ku akolanga kalaani wa palamenti Paul Wabwire, mu lutuula lwa palamenti olwomulundi ogwokusattu eye 11 era bakulonda abalala abalina okutuula ku kakakiiko akansunsula abalondeddwa ku bifo, akanakakasa ba minisita abalala abalondeddwa.