Bya Samuel Ssebuliba.
Bino nga bigenda mu maaso , bbo abatekateeka amadda ga Bobi wine ku lw’okuna kuno bategeezeza nga bwebakitegedko nti waliwo abategese okuleeta emitawana mu ntekateeka eno.
Twogedeko ne Fred Nyanzi nga ono ye Muganda wa Bobi Wine naagamba nti entekateeka z’okwaniriza Bobi wine zigenda mu maaso, era nga kino kisubirwa okuba kyamirembe, kubanga mpaawo teeka likugira muntu kwaniriza akomawo kuva bunyira.
Wabula ono alabudde abavubuka okwewala okwetaba mu bikolwa byonna ebiyinza okuvaamu emitawana.