Bya Sadat Mbogo
Abe gombolola y’e Nkozi mu district ey’e Mpigi, ng’abakolaganira wamu ne police batandise ekikwekweto ku baana abawala abeetunda abali ku myaka emitto, wakati w’emyaka 12 ne 15.
Abakulu be gombolola bagamba nti, abawala bano basusse naddala mu kabuga k’e Kayabwe e Nkozi, Nabusanke ne Ggolo.
Ssentebbe we gomblola Paulo Lubega agambye bano tebalina budde nga beetunda ku makya, mu ttuntu, akawungeezi n’amatumbi budde nga kino kiviiriddeko okwongera okusaasanya obulwadde.
Agambye baava mu bitundu ebyenjawulo n’okusingira ddala okuva ku myalo egiriranye eggombolola eno era kati webukeeredde olwaleero, ng’ekikwekweto kyakayoola 13 balinze kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.