Skip to content Skip to footer

Abe Kyaggwe betala nga besunga Omutanda

Bya Ivan Ssenabulya

Abantu ba Ssabasajja mu ssaza lye Kyaggwe bali mu ketalo, okwaniriza omutanda ku mikolo gyolunnaku lwa Gavumenti ezebitundu ne Bulungi bwansi nga 08, omwezi ogujja ku Mbugga ye gombolola ya Ssabaddu Ntenjeru.

Minister owa Bulungi bwansi, abakyala n’entambula z’omutanda Owek. Mariam Mayanja balambudde ekifo awagenda okubeera emikolo, ngeno basanze abantu betala okutekateeka.

Owek. Mayanja alambudde n’ebifo omutanda byagenda okutuukamu omubadde essomero lyaba muzibe erisangibwa e Ssalaama-Kisoga, eddwaliro lya Herona e Kisoga, n’ebirala.

Omwami wa Kabaka mu Ssaza lino Ssekiboobo Alex  Benjamin Kigongo agamba nti enteekateeka zikyatambula bulungi.

Leave a comment

0.0/5