Skip to content Skip to footer

Amagye ne poliisi biyiriddwa e Busia

Bya Ivan Ssenabulya

Polisi namagye biyiriddwa mu bitundu ebyenjawulo mu district ye Busia, oluvanyuma lwababadde bavuganya 2 okuwandukululwa okuva mu lwokaano lwobwa ssentebbe wa district ye Busia.

Wadenga wabadde tewanabaawo bikolwa byonna ebyokulwanagana oba okwekalakaasa abebyokwerinda bali bulindaala.

Omumyuka womwogezi wa poliisi mu gwanga Patrick Onyango, ategezeza nti bakoze kino okwewal ebiyinza okudirira okuva mu bawagizi.

Akakwungeezi akayise akakiiko kebyokulonda kwandukuludde owa NRM Boniface Oguttu, oluvanyuma lwokwemulugunya nti amannya ge tegakwatagana naago agali ku biwandiiko bye ebyobuyigirize.

Ate owa DP Deo Njoki akakiiko kaategezezza nti ssi mulonzi kalenga tayinza kugenda mu maaso okuvuganya.

Leave a comment

0.0/5