Bya Ritah Kemigisa
Akakiiko kebyokulonda kawandukuludde abantu 2, ababadde mu lwokaano kubwa ssentebbe bwa district ye Busia.
Owa DP Deogratius Njoki nowa NRM Boniface Oguttu, bebajiddwamu.
Kino kyadiridde aba NRM okuwawabira aba DP ku Muntu waabwe nti amannya tegakwatagana, atenga naba DP era baddukidde mu kakiiko kebyokulonda ku nsonga yeemu.
Mu kiwandiiko kyebafulumizza akakwungeezi kano, ssentebbe wakakiiko kebykulonda omulamuzi Simon Byabakama, agambye nti owa DP Deo Njoki ajiddwa mu lwokaano kubanga ssi mulonzi.
Ate owa NRM awandukuluddwa kubanga amannya ge tegakwatagana naago agali ku biwandiko bye ebyobuyigirize.
Kati twogeddeko nomumyuka womwogezi wkakaiiko kebyokulonda Paul Bukenya, nabaako byatubuliira.