Akakiiko k’ebyokulonda kafunye obuwumbi 50 okuyamba okuziba eddibu lya ssente eribaddewo mu kuddukanya emirimu mu kwetegekera okulonda kwa 2016.
Omuwandiisi w’akakiiko kano Sam Rwakojo ategezezza nga bweabafunye ssente zino oluvanyuma lw’ensisinkano n’abakungu okuva mu minisitule y’ebyensimbi.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda gyebuvuddeko y’ategeeza ababaka ba palamenti nga akakiiko bwekaali ketaaga obuwumbi obusoba mu 70 okusobozesa emirimu okutambula obulungi.