Bya Samuel Ssebuliba
Gavumenti eragidde ministry ekola ku by’etambula okwanguwa okukyusa obuuma obugema emotoka okuduka embiro ezitagwana buyite Speed Governors, olwo bateekemu obw’omulembe obusobola okulondolwa, era nga buliko n’obuuma obukwata amaloboozi.
Bino okutuukibwako kidiridde akabenja akaagudde waano Kiryandongo okukakana nga abantu 23 .
Bwabadde abuulira palamenti ebyakanyizidwako cabinet ku nsonga y’obubenje ku nguudo,minisita omubeezi akola ku by’entambula Aggrey Bagyire agambye nti kyakazizidwako nti enkola eno etandikirewo mu bwangu
Ono agamba nti mungeri yeemu cabinet yalagidde minisitule okuddamu okuwa olukusa eri emotoka zonna ezitambuza abantu, nga kuluno emotoka okuweebwa olukusa eba erina kubeera nga eri mu mbeera egwana okutambuza abantu.