Bya Samuel Ssebuliba
Ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’abaana ekya UNICEF kitegeezeza nga abaana abasoba mu 390, 000 bwebazaaliddwa ku lusooka munsi yonna, wabula nga abasinga kubano baazaliddwa mu maserengeta ga ssemazinga Asia.
Alipoota eno eraga nti mu bibuga nga Sydney-Australia abaana 168 bebazaaliddwa, mu Tokyo –Japan 310 bebazaaliddwa , 605 bebazaaliddwa mu Beijing-china, 166 bebazaliddwa mu Madrid-Spain songa abaana 317 bebazaliddwa mu New York-America.
Ku mutendera gw’ensi yonna ensi munaana zezaasinzizza abaana nga kuno kuliko India ewaazaliddwa abaana 69,000, mu china abaana 44,000, bebazaliddwa, songa mu Nigeria abaana 25,000 bebazaliddwa.
Mu mwaka gwa 2017 abaana akakade kalamba abazaalibwa mu mwaka gwonna baafa olunaku lwenyini lwebazalibwa,songa obukadde bubiri n’ekitundu baafa tebanaweza mwezi .
Charlotte Petri nga ono yamyuka akulira ekitongole kyaUNICEF agamba nti okufa nga kuno kuyinza okukoma singa amawanga gateeka ensimbi mukutendaka abasawo