Skip to content Skip to footer

Abasomesa ba Kyambogo bagaanye okusomesa.

Bya Damali Mukhaye.

Abasomesa ku tenedekero elya Kyambogo bategeezeza nga bwebatagenda kuddamu kusomesa mu lusoma luno olutandika nga 5th, songa gavumenti  teekole ku nsonga zaabwe ezensimbi zeyabasubiza.

Kinajukirwa nti nga omwaka oguwedde nga gugwako abasomesa mu matendekero ga gavument baategeeza banamawulire nti tebagenda kudda mu bibiina okujjako nga gavuvernmet ebawadde ensimbi zaabwe zeyabasubiza okubongeza ku musaala nga zino ziri obuwumbi 29.

Twogedeko ne ssentebe w’ekibiina ekitaba abasomesa ba Kyambogo Dr Grace Lubaale naagamba bakitegedeko nti abaana baddamu okusoma ku lwamukaaga luno, wabula bbo tebagenda kubafaako okutuusa nga ensonga zaabwe zikoledwako.

Ono agambye nti kino tekikoma kyambogo wokka, wabula ne university endala zonna kyasalibwawo  nti tewali alina kusomesa okutuusa nga  gavumenti  ekoze ku nsonga zaabwe.

Leave a comment

0.0/5