Bya Ndaye moses .
Ekitongole ekya KCCA kiriko amateeka amakambwe gekifulumizza , nga gano gegalina okugonderwa bonna abatunda enyama mu kampala wano.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, minister omubeezi owa kampala Benn Namugwanya agambye nti kaakano buli atunda enyama alina okubeera ne fridge , songa mungeri yeemu balina okuba n’amazzi amayonjo sosi kukozesa dagali elyobulabe eri abantu okugoba enswera.
Ono agamba nti amateeka gebayisiizza sigakutesebwako, wabula gatandikirawo okukola