Bya samuel ssebuliba.
Police mu district ye Kapchorwa eriko omusajja gw’ekutte nga ono kigambibwa nti aliko omukyala gweyasobyako mu mwaka oguwede era okuva olwo abadde aliira ku nsiko.
Omusajja ono Yeko George nga musawo ,kigambibwa nti nga akyakolera mu kwen district gyeyalina akalwaliro aka kwenne clinic and drug shop yasobya ku mukyala owe myaka 22 eyali azze okumujanjaba omusujja era okuva olwo abadde aliira ku nsiko.
Ayogerera police yeeno Rogers Tayitika agamba nti Police bulijjo emuyigga okutuusa lwebamukutte nga ali kapchorwa.