Skip to content Skip to footer

Amateeka kubalumika emikutu gy’ebyempuliziganya tegamala

Bya  Samuel Ssebuliba.

Government esabiddwa okwanguwa okuvaayo n’amateeka agayinza okuyambako okulwanyisa abantu abalumika ebyama byabanaabwe ku mitimbagano gy’ebyempuliziganya awatali kumala kufuna lukusa lwabwe.

Bino bigidde mukadde nga ensonga y’ebyuma bikali magezi abunye buli wamu, era nga kumpi eby’empuliziganya byonna kwebyesigamye

Bwabadde ayogerera mu lukungana olukwata kungeri y’okwekumamu okuva eri abasomola ebyama,olwa Digital security conference, Dr Donald Rukare  nga ono yakulira ekibiina ekya Freedom house mu Uganda agambye nti ensonga z’okukuuma ebyama ku mitimbagano gino bikyali byakuyiya.

Ono agamba nti government ekunganya ebyama byabuli Muntu, nga kw’ogasse ne company zamasimu kyoka mpaawo teeka lirambuka butya ebyama bino bwebiyinza okukuumibwa.

 

Leave a comment

0.0/5