
Gavumenti egamba nti gavumenti ya America keekadde esse ekitiibwa mu Uganda ng’eggwanga elyetongodde
Kiddiridde America okulagira nti gavumenti ekome okutigomya abavuganya naddala Dr Kiiza Besigye .
Gavumenti egamba nti Uganda teyetaaga buli kaseera kulagirwa ky’ekola kubanga emanyi ky’ekola.
Amyuka atwala ekitebe kya gavumenti eky’amawulire Col Shaban Btantariza agamba nti gavumenti emanyi bw’eddukanya abantu baayo.
Poliisi egamba nti okukwata Besigye kumulemesa kukola mivuyo.