Skip to content Skip to footer

Amerika Eyingidde mu Byamunnamawulire Wa Dembe Fm

 

Herbert

Ekitebe ky’eggwanga lya Amerika kuno kyagala poliisi eyanguyirize okunonyereza ku munnamawulire munnafe wano ku Dembe Fm Herbert Zziwa eyakubwa batuuni ku mutwe omusirikale wa poliisi bweyala agasaka mu kulonda omubaka omukyala ow’eLuweero.

Zziwa yawaabwe dda ku poliisi olwokukompolwa nga akola omulimu gwe, nga era okunonyereza kugenda maaso.

Kati omwogezi w’ekitebe kino wano mu ggwanga  Daniel Travis agamba kuno kutyobola ddembe ly’abannamaulire kyebatayinza kukkiriza.

Leave a comment

0.0/5